Deuteronomy 14:3-20

Ebyokulya Ebirongoofu n’Ebitali Birongoofu

3 aTemulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo. 4 bBino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi, 5enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko. 6Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu. 7Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli. 8 cEmbizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.

9Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba. 10Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.

11Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga. 12Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi, 13wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, 14namuŋŋoona owa buli ngeri; 15ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo, 16ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu; 17n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo; 18ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira.

19Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga. 20Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.

Copyright information for LugEEEE